Olugendo lw’e Bunyoro n’okudda

Image

Ebyafaayo byerambika bulungi nga jjajjaffe yagenda ne Ssekabaka Kato Kintu mu mwaka gwa 1195 mu Abysinia (kati eyitibwa Ethiopla). Ekyabatwalayo mafumu. Mu biseera ebyo Abysinia ye okuweesa amafumu.
Ssekabaka Kintu bwe yali akomawo okuva mu Abysinia yakomawo n’abantu be yagenda nabo era yayitira ku bizinga by'e Ssese Mu bantu be yajja nabo mwalimu omusajja gwe baayitanga Kyoto eyali n’abaana be abato Baagoba ku mwalo Mussa mu Busiro.

Bwe baatuuka awo ku mwalo bdba bava mu lyato jjajjaffe gwe baayitanga Kyoto n’abagamba nti bateekwookumala okutta omukago n’olukalu balyoke bafulume eryato. Wano Kyoto kwe kuva mu lyato n’akwata enkumbi n’atema ettaka n'a1iyiwa mu nnyanja, wano ne balyoka bakkalira ku lukalu.

Kyoto banne we baamutuumira erinnya erya Makumbi Nagunogwaka Makumbi lye linnya ly’omukulu w’ekika ky’Embogo omuberyeberye era mu maaso eyo mujja kulaba n’erinya lya Kayiira engeri nalyo gye yalifunamu Kato Kintu yasooka okukuba Olubirilwe e Magonga Malangala mu Busujju ng ali n’abasajja be yajja nabo, oluvannyuma lw’okulwanyisa Bbemba eyali kabaka mu biseera ekyo.

Kato Kintu yajja ne mukazi we Nambi Nantuttululu wamu ne muganda we Winyi. Winyi oluvannyuma yeeyongerayo n’atuukira ddala e Bunyoro gye yasiisira. Ebyafaayo biraga nga naye yafuuka kabaka w’e Bunyoro
Kato Kintu yazaala omwana we Ccwa Nabakka. Kintu yabulako amafiire, Ccwa Nabakka n’asika nga mu 1230. Omuzaana we ye yali Nakiwala ow’Eponge. Baazaala Omulangira Kalemeera.

 

Omulangira Kalemeera yayagala nnyo kitaawe Ccwa Nabakka era teyamuvanga ku lusegere. Oluvannyuma lw’okumanya nti jjajjaawe yabula, abantu baatya nga balowooza nti Kalemeera yanditta kitaawe ng’ayagala okumusikira alye obwakabaka. Kyebaava bamutemerera eggambo eddene ennyo Okukkakkana ng’Omulangira Kalemeera bamusalidde omutango gw’enkumbi asobole okugira ng’ava mu lubiri. Mu biseera ekyo enkumbi zino zaali ziweesebwa Bunyoro.

Basajja ba Kabaka bannyonnyola Omulangira Kalemeera nga jjajjawe bwe yali e Bunyoro era bwe yandigenzeeyo n'amala okumweyanjulira taaleme kumuwa nkumbi okuwona olufuubanja.

Omulangira Kalemeera, mikwano gye omwali Makumbi, Katumba wamu n'abamu ku baami gyamuwerekerako. Okugenda e Bunyoro baayitira Kibulala. Bwe baatuuka e Bunyoro beeyanjula

Ab’e Bunyoro baagenda mu Lubiri ne bannyonnyola Kabaka Winyi nga bwe waaliwo Abaganda abaali bavudde e Buganda nga baagala okumulaba. Winyi yabakkiriza okuyingira mu Lubiri lwe bennyonnyoleko.

Omulangira Kalemeera, Winyi yamusanyukira nnyo wamu ne be yali nabo. Omulangira ne be yagenda nabo bakkalira. Era Makumbi n’atandika okuba Kawuka. Kawuka ye mulaalo eyalundanga ente za kabaka Winyi. Ye katumba yali omuvubi n'atandika okuvuba.

Nga wayise ekiseera, Ccwa Nabokka yakisa omukono.
Ssebwana ye yali Katikkiro mu kakyo ako. Amawulire ga kabaka okukisa omukono gaasaasaana ne gatuuka n'e bunyoro. Abaganda abaali bagenze n’Omulangira Kalemeera baayagala okukomawo okuzza Omulangira ku butaka e Buganda.

Omulangira wamu ne basajja be baakyaluka era Kabaka Winyin'abasibira entanda. Baali basomose Kibulala Omulangira omusujja ne gumukwata, n'alwala era n’afa. Yazilkibwa ku mutala Kibulala. Abaali n’Omulangira byabasobera nga tebalaba ngeri ya kunyonyola ab'e buganda ekyali kituuseewo. Baasalawo okukyusa obuwufu okudda e Bunyoro babitebye eri kabaka Winyi.

Nga batuuse e Bunyoro Katumba ne Makumbi baddayo ku mirimu gyabwe gye baaliko mu lubiri. Wabula mu lubiri mwalimu omuzaana wannyana omulangira kalemeera gwe yayagalanga.

Omuzaana ono baagenda okulaba ng’ali lubuto. Katumba ne Makumbi kyebaava balagula Winyi nti ssebo mu Lubiri lwo bwe mubangamu omuzaana ng’alina ettu ng'ate okimanyi nti toyitangayo, omwana bw’azaalibwanga asuulibwanga mu kibumbiro.

Bwe kityo kyamala ne kitegeerekeka nga Wannyana alina olubuto era bwe yazaala omwana n’asuulibwa mu kibumbiro. Mu biseera kino kye kimu muka Katumba yali alina omwana gw’ayonsa. Omwana wa Wannyana eyasuulibwa mu kibumbiro bwe yaggyibwayo n'aweebwa muka Katumba n’amuyonsa wamu n’owuwe.

Abenkima kyebava bayitibwa bajjajja ba Buganda. Makumbi yasobolanga okubatwalira amata. Nga wayise ebbanga lya myaka musanvu oba munaana, Wannyana yayagala okulaba ku mwana we gwe baamuggyako. Katumba yamugamba okuyimirira wabweru w’Olubiri ng’enjuba egolooba nga Makumbi akomyawo ente. Nti omuvubuka gw’anaa1aba ng’ataayiza ente y’ajja okuba Omulangira Kimera.

Ab’e Buganda bwe baakimanya ng'e Bunyoro bwe waali wazaaliddwaayo Omulangira Kimera, Nakku eyali muka Ccwa Nabakka yakola olukwe olw’okuzza omulangira oyo ku butaka e Buganda. Kino kyasanyusannyoKatumbane Makumbinebannaabwe era ne bategeka olugendo olubazza e Buganda. Olugendo luno lwali lunene ddala era nga baalutambuza bigere ng’embeera bwe yali ebiseera ebyo.

Mu baatindigga olugendo luno mwalimu abantu bangi nga ne Wannyana maama w’Omulangira, batabani wamu n'abaana ba Kyoto Makumbi (Kaddu, Walakira, Semitego, Wavvuuvuumira ne muwala we Namagembe) tebalutumiddwa mwana.

Kaddu ye yakongojja Omulangira ng’akooye, era eno n’eba ensibuko y’obukongozzi bw’Abembogo era na guno gujwa Abembogo abasajja bayitibwa “Bakongozzi” ate b abakazi ne bayitibwa “Abameeka”.

Makumbi afuna erya Kayiira Makumbi yali muyizzi kkungwa wadde nga e Bunyoro yali mulu nzi wa nte. Yalina embwa ye ng'eyitibwa Ssemagimbi era eno gye yayigganga nayo ensolo ezitali zimu.

Omulangira Kimera, Makumbi n'aba1ala nga bava e Bunyoro okudda e Buganda, Makumbi yajjanga ayigga olw’okufunira Omulangira ne be yali nabo ekyokulya. Mu lugendo luno mwe yafunira erinnya Kayiira eryamukalako n'okutuuka leero.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search