Essiga lya Walakira e Bbungo

Owessiga Walakira e Bbungo, Butambala mwana wa Makumbi Kayiira Gaajjuule owooku Y'adda ku Kaddu Sekayiba e Ssenge. Kitaawe Gaajjuule Kayiira ye yamuzizikira Essiga lino ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera e Bumera.

Omutaka Mustafa Nsonzi Walakira ye Wessiga mu mulembe Omutebi.

 Obutaka bwe buli ku mutala Bbungo mu Butambala. Bbungo kiri mu Muluka Kitimba mu Ggombolola Mumyuka Kalamba, mu Ssaza lya Ssaabasajja ery’e Butambala.

 Okutuukayo ng’ova e Kampala okwata ezigenda e Ggombe Kibibi, n’oviiramu e Lukalu ewa Tomusange, olwo n’obuuza e Bbungo.

Obutaka buno obw’e Bbungo, buli ku mutala Ssekabaka Kimera gwe yali awadde omuzaana we Namagembe mwannyina Walakira.

Namagembe ye yawa Walakira omutala guno. Olwokuba ng’emitala edda gyalinga gya kulimirira, mwannyina yali tasobola kugulimirira kyeyava agumuwa. Na buli kati mutala gwaffe gwa nsikirano.

Ku butaka buno e Bbungo kwe kuli olusozi “Lwere” n’akabira “Nakabugo” omuva amannya gano agatuumibwa mu b’Embogo.

Ku lusozi olwo “Lwere” kuliko omweso oguyitibwa “Buteba”. Mu mweso ogwo Ssekabaka Kimera mwe yayesezanga ng’ava mu Lubiri lw’e Magonga.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search