Omutuba gwa Kaggwa

Omutuba gwa Kaggwa

Embuga y’omutuba gwa Kaggwa err Nsujjumpolwe - Mawokota. Owoomutub a ye Sentamu Saulo. Omutuba guno muto. Gwasimbwa Ssemitego Paul Kizire nga guva mu gwa Kizindo e Muzinda eyavaamu Ssaabalanglra.

Bakaggwa baddiriŋŋana bwe bati:
Ssempiira Ssenkandwa yazaala Kabambwe, eyazaala Balemeezi, eyazaala Saalimu Kasibante, eyazaala Yonasaani Kaggwa Bugembe , eyazaala Saulo Sentamu aliko kati ekitabo kino we kiwandiikiddwa.
Zino ze nnyiriri eziri mu mutuba gwa Kaggwa

 

 Enyiriri

    1     Yonasaani Kaggwa e Nsujjumpolwe - Mawokota
    2     Slmon Walakira e Kisammula - Mawokota
    3     Lutaakome e Namuppoona - Kyaddondo

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search