Omutuba gwa Kyagulanyi

Omutuba gwa Kyagulanyi

Embuga eri Kigogolo Busujju. Guno gwe mutuba omukulu ogwasooka mu ssiga lya Ssemitego ogukyatuuka ewa Ssemitego. Owoomutuba aliko we tuwandiikidde ekitabo kino ye Makumbi Benedicto.

Omutuba guno gwebuuzibwako ensonga nnyingi era guvaamu omukongozzi atwala amayembe ga Kabaka okukiika e Mbuga. Kyagulanyi, y’alasa akasolya okusereka ennyumba ya Nnyanzi (Nnyanzi ne Kabanda z’engo z'oweessiga Ssemitego) ey’ekiggwa ku mutala Nnyanzi. Kawuuzi y’awoola amaliba agaleega eppoma za Ssemitego.


Bakyagulanyi baddiriŋŋana bwe batti:

Ssemitego y’azaala Kayumbu, eyazaala Kyagulanyi, eyazaala Nnyanzi, eyazaala Mukwaya, eyazaala Munyolaagenze. Ye yazaala Kaate, eyazaala Ssebadduka, eyazaala Ngabo e Zzaaya, eyazaala Lule Lwago, eyazaala Semeo Balimutta, eyazaala Yowaana Bugembe, eyazaala Benedicto Makumbi aliko kati.

 

 Enyiriri

    1     Kaate e Buluma.
    2     Balemeezi eWakiso.
    3    Ssebaddwa e Lukwanga.
    4     Lwanyaaga e Kyamusisi. Nnyanzi Muswayiri, luli Bugerere
    5     Ntwatwa e Kiwanda-Busujju.
    6    Muwaya e Nnyanzi-Ssingo.
    7     Lupere e Sseeta-Busujju.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search