Omutuba gwa Kyega

Omutuba gwa Kyega

Obwajjajja mu Mutuba gwa Kyega bwalambikwa bwe buti: Mu mwaka gwa 1959 nga 23 mu mwezi gwa Museenene, omukulu Juma Balimunsi yaleeta omukulu akulira Olunyiriri mu kiseera ekyo nga ye mutaka Edward Sentamu Kyagambiddwa e Kyasa Buddu.

Omutaka, ng'ajuliza ekitabo kye yalina; yalambika bulungi empya za Kyega nga bwe zitambula. "Jjajjaffe Munana mutabani wa Kayiira Mawampa nga yava Ssingo n'agenda e Ssese. Eyo gye yazaalira abaana: Walakira, Buswalula, Ndege, Lwenswa, Kabonzo n'abalala. Yafiira ku mutala Mukendo e Ssese.

Walakira ye yasikira Munana. Oyo yafiira ku mutala Mubogo e Ssese. Munana mutabani wa Kayiira ddala. Buswalula, Ndege, Lwenswa ne Kabonzo bajjira mu lyato limu lye bayita Nakyevuga Kyalaye ne bagoba ku mwalo Nnamirembe. Bwe baatuuka e Buddu ne baawukana, Buswalula n'agenda e Kanyaga Nkoma, Lwenswa n'agenda e Kyasa Buddu, Kabonzo n'agenda e Zirizi.

Buswalula yazaala Muwawu, Muwawu eyazaala Gwotomera, Gwotomeraeyazaala Kumanyangabo, Kalemeerane Muwawu II. Muwawu II n'azaala Musajjaawaza ne Mwengemuka. Mwengemuka n'azaala Lujjuna eyazaala Kyega Muguluma ne Petero Nkobwa.

Kyega n'azaala Anderea Mbugaano, Samwiri Kiriggwajjo ne Mikairi Bawaleggabi. Anderea Mbugaano n'azaala Yonasani Wakomoobulungi Mukwaya. Yonasani Wakomoobulungi Mukwaya n'azaala Anderea Wakomoobulungi Ssekaayi Kyega 1.

Oyo nno ye yazaala Willington Geoffrey Walakira nga kati ye Kyega 11 okuva nga 15 Muzigo (Maayi) 2004.
Abamu ku bajjajja abamenyeddwa ezzadde lyabwe teryogeddwako naye nga baazaala abaana bangi. Omutuba gwa Kyega gwasimbibwa nga 13 Muwakanya (August) 1988 e Mpanga Kyerima-Butambala, nga gwasimbibwa Omutaka Edward Patrick Sentamu Owessiga Kyagambidwa I.
Omutuba gwa Kyega gukolebwa ennyiriri zino wammanga:

 

 Ennyiriri

    1     Olunyiriri lwa Wakomoobulungi Mukwaya e Mpanga Kyerima Butambala lukulirwa George William Muwawu. Ono atuula mu Kitebi. Mu lunyiriri luno mwe muva Owoomutuba Kyega.
    2     Olunyiriri lwa Kasibante e Mayungwe Butambala lukulirwa Joseph Kasibante Nnyanzi. Ono atuula Mpala Nkumba ku lw'e Ntebbe.
    3    Olunyiriri lwa Sekaayi e Kasudde Busiro lukulirwa v Fred Kabanda. Atuula Masooli ku lw'e Ggayaaza.
    4     Olunyiriri lwa Walugegge e Kyetume Ggomba lukulirwa Baker Nnyanzi atuula e Kyetume Ggomba. Abakulembeze abaasooka be bano: Ssaalongo Kaabunga eyatuulanga Busujju n'addirirwa Dan Ddumba. Bwe bejjulula ono aliko kati n'akulembera.
    5     Olunyiriri lwa Bukaba Kasibante e Mpanga Butambala Belukulirwa Daudi Muwawu atuula e Mpanga.
    6     Olunyiriri lwa Lule e Kibibi Butambala lukulirwa Sheikh Muhamad Kaabunga atuula e Kireka ku luguudo olugenda e Jjinja, kumpi n'omuzigiti gw'e Kireka.
    7     Olunyiriri lwa Balimunsi Kabeba Lwenswa e Mabuye Buddu lukulirwa Hajji Jjuma Kaabunga atuula e Katwe mu Kyaddondo, kumpi n'ettaawo lya waggulu..

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search