Omutuba gwa Kityamuweesi Sekibaala

Omutuba gwa Kityamuweesi Sekibaala

Agukulira ye Sheikh Nnyanzi Edrisa. Gusangibwa Kyamula Bukunda, eggombolola Ssaabagabo Kyannamukaaka, Buddu. Okutuukayo okwata Kyotera n'okyamira e Bukunda Kyannamukaaka - Kanoni - Kyamula.

Abazze balya Obwakityamuweesi be bano:
1. Ali Kizza. Yagalamizibwa Kabuntoko
2. Abudunuulu Kasibante e Kituuku mu Kooki

Ennyiriri eziri mu Mutuba Kityamuweesi ze zino:

 Enyiriri:

    1   Nnyengere, lukulirwa Emanweli Majala e Sennya Ma Masaka - Bukoto
    2     Balamaze, lukulirwa Hajji Yasiini Kyagulannyi e Kasenyi - Salaama, ggombolola Makindye.Tabula mu ggombolola Mitubeesatu Mukiise, e Misansala, Buddu.
    3     Lukusa, lukulirwa Hajji Kabanda Sula e Kinyerere. Okyamira Matanga mu ggombolola Mitubeesatu Mukiise Mukungwe, mu Buddu.
    4     Kimenya, lukuliirwa Muyira Emanweli e Kaabuwoko Ssaabagabo Kyannamukaaka mu Buddu.
    5     Kadaali, lukulirwa Sheikh Sengooba Haruna e Budda Masaale Butenga mu Buddu.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search