Omutuba gwa Bbuzibwa

Omutuba gwa Bbuzibwa

Akulira Omutuba gwa Bbuzibwa ye Christopher Lwere e Kyannakase, mu Muluka Kyanakase. Eggombolola Ssaabawaali Bukoto, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata ku lw'e Mbarara n'ogenda e Kyoko-Bukoto.

Abazze balya obukulu obwo be bano:
1. Kabanda Ssajjabbi Alikisi
2. Sentamu Lule Nyansiyo
Bombi bagalamizibbwa Kyannakase.
Ennyiriri eziri mu mutuba gwa Bbuzibwa ze zino:

 Abalenzi:

    1     Kabanda Ssajjabbi, lukulemberwa Omutaka Benedicto Joseph Walakira e Kyannakase, Bukoto Masaka-Buddu. Atuula Lubaga, Kampala ku luguudo Mankeni.
    2     Mukaabya, lukulemberwa Omutaka Stephen Nnyanzi e Ndozi Misansala, ggombolola Mukudde-Buwunga. Atuula Kabaale-Bugonzi, mu Muluka Bugonzi, Ggombolola Mitubeebiri Bukulula, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka-Kabaale-Bugonzi.
    3     Kigoogwa Kaddu, olukulemberwa Omutaka Paulo Sentamu Kayizzi, e Bbaale, Masaka-Buddu. Atuula Wakaliga, Kampala.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search