Omutuba gwa Kirabira

Omutuba gwa Kirabira

Guno gwe Mutuba omukulu era nga gusangibwa Kasanga 2 mu Busiro nga gukulirwa omu kulu Ssaalongo Mulindwa Nnyanzi era ng’amyukibwa Wakkanyuule Mukasa
Lutaakome Henry. Okutuukayo oviiramu Nnamayumba n'okwata eridda e Bulemeezi mayiro ng’emu n’ekitundu (1½)
Bano be Bakirabira abaakalya Obwakirabira:
1. Omusiige wa Mukasa
2. Mombwe
3. Ssebuza
4. Tebalidde
5. Kyebaalibeebuuza
6. Kweye
7. Kintunuulira
8. Mitembo
9. Musoke
10. Nkofutekwaya
11. Ngalomyambe
12. Kyajjakuzimba
13. Ssekisambu
14. Ssajjalyemitala
15. Temba
16. Zakaria Nyenje
17. Bulasio Katuluba
18. Ssaalongo Mulindwa Nnyanzi

Omutuba gwa kirabira gulina enyiriri mukaaga(6)

 Enyiriri

    1     Bamuje e Ssenge, lukulirwa omukulu Wakkanyuule Mukasa era nga lwe luvaamu Kirabira. Lusangibwa Ssenge. Olunyiriri luno lwe luvaamu Kaddulubaale w'omu Masiro g’e Wamala aga Ssuuna, era lwe luvaamu n’Omuweeka Namagembe azaala Katikkiro wa Buganda oweekitiibwa Eng. J.B.Walusimbi.
    2     Nswemu Bbongole Mawokota. Luno luli Bbongole Mawokota era nga lukulirwa omukulu Ntwatwa Musoke.
    3     Bacwezi Sonna Kangulumira mu Bugerere. Gukulirwa omukulu Mike Kayanja Lutaakome.
    4     Nnyenje Kalule Gukulirwa Hajji Nnyenje.
    5     Katagirya e Gguluddene Namulonge. Lukulirwa omukulu Sentamu.
    6    Ttuntu e Ssingo; lukulirwa omukulu Ssempiira era nga luno he luvaamu Omuweeka w’aba1ongo ba Ssekabaka Muteesa II mu Masiro e Kasubi. Kirabira eyasooka ye yazlikibwa mu Kiggwa kya Lubaale Mukasa. Eyo ye nsonga emuyisa Omusiige wa Mukasa.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search