Omutuba gwa Nawambwa

Omutuba gwa Nawambwa

Obutaka bw’omutuba gwa Nawambwa buli Bugabo. Okwata ku luguudo lw’e Ntebe n’oviiramu ku mayiro kkumi na mukaaga (16) n’okwata eridda ku mwalo e Kkoko oba Garuga. Omutuba guno gukulirwa Nawambwa Francis Kaleeba Wakkanyuule.


Abaakalya Obwanawambwa bali musanvu (7) era be bano:
1. Nawambwa Bandi
2. Nawambwa Majwega
3. Nawambwa Wakkanyuule Kiwanuka
4. Nawambwa Mukookiro Lazaaro Kakadde Nsigo. Nawambwa ono yasoma n'abajulizi era n’awona okuttibwa nga bookya abajulizi ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga.
S. Nawambwa Isaaya Kinaagomba
6. Nawambwa Njuki Benwa
7. Nawambwa Kaleeba Wakkanyuule Francis

 Enyiriri

    1     Majwega. Luno luli Bugabo era nga lwe luvaamu Nawambwa, nga lukulirwa omukulu Joseph Ssengooba.
    2     Mpagi olusangibwa e Kisuuto mu Mawokota era nga lukulirwa omukulu Mpagi Kulubi Yozefu.
    3     Ssebuko olusangibwa e Sebbobbo mu Ssingo era nga lukulirwa omukulu Ssemayobe.
    4     Kaleeba olusangibwa e Musisi Mmemde mu Busiro nga lukulirwa omukulu Kasibante
    5     Nyenje olusangibwa e Naggalama era nga terulina alukulira okuva eyali alukulira okufa.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search